
Akakiiko akalondesa kongezezzaayo okuwandiisa abakiise b’ebibinja ebitali bimu mu palamenti.
Kiddiridde kkooti gyebuvuddeko okusaba nti wasooke kubaawo kulambika ku nonda ya bano .
Aboogerwaako kuliko abakiise b’abavubuka, abakozi, n’abakiikirira amaggye mu palamenti.
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agambye nti tebagenda kuwandiisa bantu bano nga bawandiisa abalala abagaala okukiika mu palamenti okutuuka ng’ensonga eno ekoledwaako.
Wabula ono agambye okuwandiisa abagaala okukiikirira abakyala, abalema n’abalala kwakugenda mu maaso.
Kuno kwakutandika olunaku lw’enkya kufundikirwe ku lw’okuna.