
Kkooti etaputa ssemateeka egaanye eky’okuyimiriza okuwandiisa ababaka ku nsonga y’ensimbi ezisabwa abesimbyeewo.
Ensimbi zino zawanikibwa palamenti gyebuvuddeko okuva ku shs emitwalo 20 okudda ku bukadde busatu.
Omulamuzi Remmy Kasule agambye nti kino kibadde kyakosa okulonda kwonna ne kampeyini.
Ono agambye nti abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga baatandika dda kampeyini zaabwe kale nga kiba kikyaamu okuyimiriza abalala.
Abagaala okukiika mu palamenti bakusasula obukadde busatu nga tebannaba kuwandiisibwa kakiiko kalondesa kwesogga lwokaano.
Abeesimbyeewo okuli Idd Ouma ne Paul Ssembajwe okuva mu mukago gw’ebibiina ebivuganya beebaddukira mu kkooti nga bagaala eyimirize okuwandiisa abagaala okukiika mu palamenti
Bano bategeeza nti okusaba ensimbi enyingi bweziti ku mutendera gwa palamenti kyakujjamu bangi ate nga n’abantu ebyobufuzi bakubifuula bizinensi