
Eyesimbyeewo ku bwa loodimeeya ku lwa DP Isa Kikungwe agamba nti etteeka erifuga ekibuga teririiko mutawaana ng’abantu balina kulitegeera butegeezi.
Kikungwe bino abyogedde asisinkanye banna DP e Nateete ng’ayigga akalulu.
Kikungwe agambye nti etteeka lino lirambulukufu ku mulimu gwa buli omu kale nga buli omu alina kukola gugwe okwewala okulwana
Ono alumbye loodimeeya Erias Lukwago olw’okulemererwa okuwereeza bannakampala nga yekwasa etteeka ekitali kituufu
Ategeezezza nti Lukwago asusse okusiga obukyaayi mu kibiina ekyongedde okwawula ba memba
Aba DP baasimbawo Kikungwe oluvanyuma lwa Lukwago okwesimbawo nga namunigina
Lukwago wakutandika kampeyini ze ssabbiiti ejja