Skip to content Skip to footer

Raila Odinga yoomu ku basubirwa ku kwegatta kwaba UYD

Bya Ivan Ssenabulya

Akulira oludda oluvuganya gavumenti ya Kenya Raila Odinga wakwetaba ku mukolo gwokutongolnza ekibiina ekitaba abaliko ba musaayo mutto ba DP aba Uganda Young Democrats wiiki ejja nga 23rd omwezi guno.

Kino kikakasiddwa ssenkaggale wa DP Nobert Moa mu lukungaana lwabanamwulire lwebatuzizza ku wofiis zekibiina mu Kampala.

Abalala abasubirwa era bebayise kuliko, Nelson Chamisa akulira oludda oluvuganya gavumenti ya Zimbabwe, Senator Hassan Omar okuva e Mombasa, Dr Paul Williams omubaka mu palamenti ya Bungereza, eyalabwako jjolyabalamu ngayambalira omukulembeze we gwanga kuno Yoweri K. Museveni olwokulwa mu buyinza nabalala.

Eno banabybufuzi basubirwa okuvayo nenkola ezokulindiggula gavumenti ya NRM ekigwo.

Abalala abatebaye mu lukungaana lwabanamwulire luno kubaddeko abayitako mu UYD, nga presidenti wa  SDP Mike Mabike, Lyandra Komakech nabalala.

Leave a comment

0.0/5