Bya Ruth Anderah
Munnabyanjigiriza ateerya ntama Dr. Stellah Nyanzi asabye omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road James Ereemye okuyimiriza omusango gw’okuyita omukulemebeze w’eggwanga obutuliro ogumuvunaanibwa okutuusa nga kkooti etaputa ssemateeka emaze okuwulira okujulira kwe ku kukeberebwa oba omutwegwe gukola bulungi ky’awakanya.
Wabula okusaba kwe tekuwuliddwa olwaleero kubanga teyawadde ssaabawaabi wa gavumenti kkopi ku kusabakwe sso nga n’omuwaabi wa gavumenti amuvunaana ali mitala wamayanja.
Kati omulamuzi Ereemye ayongezzaayo okweyimirirwa kwa Nyanzi okutuusa nga 7 June 2017.
Bannamateeka ba gavumenti baasaba Nyanzi akeberebwe omutwe balabe oba ssimulalu wabyla bino byonna Nyanzi tabyagala.
