Skip to content Skip to footer

Abakatuula s6 bakusomesebwa okukozesa emmundu

Bya Ritah Kemigisa

Abakatuula siniya ey’omukaaga abasoba mu 700 okuva mu disitulikiti ez’enjawulo bakutendekebwa mu ssomo lya mwoyo gwaggwanga okumala wiiki 2 wali mu kisaawe ky’ettendekero lya Shimoni Primary School college mu disitulikiti ye Wakiso.

Kamissiona w’enteekateeka eno Col.Patrick Mwesigye agamba essomo lino lyakuyamba abayizi ebintu ebyenjawulo nga okukozesa emmundu, ebty’obulamu sso nga era bakubangulwa mu by’amateeka n’ebirala.

Enteekateeka eno yatongozebwa pulezidenti Museveni mu 2009 n;ekigendererwa ky’okulaba naga abakulembeze b’eggwanga abenkya eggwanga lyabwe libali ku mutima.

Leave a comment

0.0/5