
Ebyokwerinda binywezeddwa ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe wakati mu kulindirira omulambo gw’abadde minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima.
Ewayingira ku kisaawe waliwo abaserikale bangi abakebera abayingira.
Abamu ku bakungu ba gavumenti batuuse dda nga bakulembeddwamu minisita w’ebyokwerinda Dr Crispus Kiyonga ne ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala
Yo enyonyi erimu omulambo esubirwa okutuuka ku kisaawe ky’enyonyi essaawa yonna okuva kati.
Aronda y’afa ku lwomukaaga oluwedde mu kibuga Dubai bweyali ava mu kibuga Dubai nga era ne palamenti y’ategese olutuula olw’enjawulo okujukira ebirungi omugenzi by’akoledde eggwanga.
Aronda wakuzikibwa ku biggya byabajjajabe e Rukungiri ku Sande.