
Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva e Ntusi ne Lwemiyaga abakwanze akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM ekiwandiiko nga bemulugunya ku kyekubirira mu kakiiko ka disitulikiti ak’ebyokulonda.
Ekibinja kino kikulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Sekikuubo nga bagamba akakiiko kano tekamanyi byekakola.
Nga bakwasa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina Tanga Odoi , balumirizza abatwala eby’okulonda ku disitulikiti eno okuvuluga okulonda kwonna n’okukuma omuliro mu balonzi.
Bano kati baagala akakiiko kano kasattululwe.
Ye ssentebe w’akakiiko kano Tanga Odoi asuubizza okutunula mu nsonga eno.