Skip to content Skip to footer

Omulambo gwa Aronda gutuuse mu ggwanga

File Photo:Eyabadde Minisita wa internal Affairs Aronda Nyakayirima
File Photo:Eyabadde Minisita wa internal Affairs Aronda Nyakayirima

Omulambo gwa Gen Aronda Nyakairima gumaze okutuuka mu ggwanga

Ono aggyidde ku nyonyi ya Emirates ng’ebaddemu n’abalala abajjidde ku mulambo guno okuva e Dubai.

Ebyokwerinda binywevu ddala ku kisaawe ng’abakulu abenjawulo webaali okukima omulambo guno.

Bendera z’eggwanga nazo zewuubira wakati ku miti okulaga embeera y’okukungubagira eyali aduumira amaggye g’eggwanga ng’era y’abadde minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga

Mu bano kwekuli aduumira amaggye g’eggwanga gen Katumba Wamala, Dr Crispus Kiyonga , Gen Kale Kaihura, abapoliisi ne bannamaggye kko n’abakulu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga.

N’abenganda z’omugenzi webali okwaniriza omuntu waabwe okuli Namwandu, bamulekwa

Abajaasi bokka abali waggulu b’eddaala lya Brigadier beebalina okukwata ku ssanduuko omuli omulambo gwa Gen Aronda.

Abajaasi mwenda beebalondeddwa okusitula sanduuko y’omugenzi nga bakulembeddwaamu Lt. Gen Ivan Koreta, gen Elly Tumwine, Gen Kale Kaihura.

Aronda y’afa ku lwomukaaga oluwedde mu kibuga Dubai bweyali ava mu South Korea.

Palamenti yategese olutuula olw’enjawulo okujjukira ebirungi omugenzi by’akoledde eggwanga.

Aronda wakuziikibwa ku biggya byabajjajabe e Rukungiri ku Sande mu bitiibwa byonna .

Leave a comment

0.0/5