Abayisiraamu basabiddwa okutunula nkaliriza okulaba oba omwezi gunaboneka olwaleero.
Akulira ebya Sharia mu Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu agamba omwezi gwandiboneka akawungeezi kaleero nga era singa guboneka okusiiba kuba kwalunaku lwankya.
Wabula singa olwaleero teguboneka olwo okusiiba awatali kubuuza kwakutandika ku lunaku lwomukaaga oluvanyuma lw’ennaku 30 ez’omwezi gwa Shaban.
Sheikh Yahaya Kakungulu asabye buli asooka okulaba omwezi ategeeze omulala.
Ye supreme Mufti Sheikh Sliman Kasule Ndirangwa n’ategeeza nti omwezi gw’ekisiibo mwemwakkira Quran kale okujisoma kikulu nyo kale nga abantu basanye okugisoma.