Skip to content Skip to footer

Kennethh Kaunda Afudde

Bya Musasi Waffe

Omukulembeze we’gwanga lya Zambia, eyasooka Kenneth Kaunda, mukama yamujuludde okuva mu bulamu bwensi.

Ono yoomu ku bakulembeze bamawanga ga Africa abalwanyisa abazungu nokufuna obwetwaze abadde akyasigaddewo, nga yafiridde ku myaka 97.

Kaunda abadde ajanjabibwa ku ddwaliro lyamagye mu kibuga ekikulu Lusaka, okuva ku Bbalaza wabula yafudde kirwadde pneumonia ssi COVID-19 nga bwebibadde byogerwa.

Kaunda, mu myaka gya 1950 yali mapgi luwagga eyakulemberamu okulwanyisa Abangereza egwanga lya Northern Rhodesia okwenunula.

Ono ye mukulembeze eyasooka mu 1964.

Omukulembeze wa Zambia Edgar Lungu amwogeddeko ngomusajja abadde yagala ennyo Africa era baakumukungubagira n’okumujjukira.

Leave a comment

0.0/5