Bya Ivan Ssenabulya
Okwetuga kyekikyakulembedde, ekiviriko abantu okufa mu nsi yonna, okusinga ne’birwadde nga mukenenya, omusujja gwensiri, kokolo wamabeere, entalo, obutemu nebirala.
Bino byajidde mu alipoota abekitongole kyebyobulamu gyebafulumizza oluvanyuma lwokunonyereza, aba World Health Organization kwebakola.
Alipoota eraga nti abantu emitwalo 70 bebetuga, nga okutemateeka ku buli bantu 100 abafudde omu abeera yetuze nomulanga eri amawanga okulwanyisa ekizbu kino ngomwaka gwa 2030 tegunatuuka kubanga kyandimalawo abantu.
Kino kitereddwa ku banatu okusoberwa olwokugobebwa ku mirimu, ebbula lyensimi nebirala ebyaletebwa olwekirwadde kya ssneyiga omukambwe.
Ssenkulu wa WHO Dr. Tedros Adhanom agambye nti ensi tetekeddwa era tetusaanye kwefuula nti ekibu kino tekiriiwo, wabula kyetaaga kulwnayisa.
Mungeri yeemu, alipoota eraga nti okwetuga kukwata kifo kyakuna mu bavubuka abafa wakati wemyaka 15 ne 29, nga kukulemberwa obubenje ku nguudo, akafuba nokulwanagana.
Ebibalo bino byagenze bikyuka mu bitundu ebyenjawulo wabula awamu aasajja bebasinga okwetta, atenga mu mawanga agakyakula abakzo beasinga.
Kati bawabudde nti emiwaatwa gyetaaga okuziba ekivaako abantu okwetuga, okubudabunda abantu nokubangula abamawulire okuwandiika obulungi ku bikwata ku bantu okwetuga.