Bya Ruth Anderah.
Kooti ya Buganda Road ekiriizza omuwala Susan Namata okweyimirirwa nga ono aludde nga awerenemba n’emisango gy’okuvola omukulembeze we gwanga nga amuvuma ebigambo ebitiisa.
Namata leero ekedde kulabikako mu maaso g’omulamuzi Stella Maris Amabilis namulagira okusasula akakalu ka kooti ka mitwalo 600, 000 .
Ono okuweebwa okweyimirirwa omulamuzi amaze kukiriziganya ne munamateeka Isaac Ssemakadde nti ono agwana okukirizibwa okweyimirirwa kubanga munnayuganda.
Kati ono ateredwako emisango ebiri okuli ogw’okiwemula, kko nokukozesa obubi computer