Bya Eriya Lugenda.
Omulamuzi wa kooti enkulu ey’e ukono Margret Mutoni aliko omusamize ggwaakalize amayisa oluvanyuma lw’okumeggebwa omusango ggw’okusaddaaka omuntu.
Godfrey Wasswa ow’emyaka 24 nga mutuuze w’ekitimbwa mu district ye Kayunga yawereddwa ekibonerezo kino nga kiddiridde okukkiriza nga bweyasaddaaka Saulo Kajura eyalina emyaka 19 ng’ono era yali Crime Preventer.
Oludda oluwaabi lutegeezeza nti omuwawabirwa omusango guno yaguza mu 2016 eranga omugenzi yamutemako omutwe saako n’ebitundubye ebyeekyaama.
Wasswa akkiriza omusaango guno nasaba kooti emuwe ekibonerezo ekissaamusaamu, wabula kino omulamuzi nakiziimuula