Francis Mugerwa.
E Kakumiro Police eriko omusajja gw’ekutte, nga ono kigambibwa nti yazze kumukyalawe namutta nga amulanga kugaana kumuwa nsimbi Shs.5000 zaabadde amubanja.
Ono okukwatibwa agiddwa ku kyalo Kikoora mu gombolola ye Kakinso gyabade yeekwese, oluvanyuma lw’okukozesa ejambiya natema mukyalawe Norida Komwaka namutta.
Ebyakazuuka biraga nti bano bwebaafuna obutakaanya mubudde obw’ekiro, omwami nga abanja omukyala 5000, kale mubusungu obw’ekitalo nakwata ejambiya okukakana nga atemye omukyala namutta
Twogedeko n’akulira police ye Kikoora Ismail Friday nagamba ngi ono ali ku police nga okunonyereza kwayo bwekugenda mu maaso.