Bya Eria Lugenda
Nga olwaleero amasomero okwetoloola eggwanga lwegawumuza abayizi mubutongole,omusomesa mu district ye Kayunga asiiwuuse empisa nakwaata Burser w’essomero amataayi nga amulanga butamusasula musaalgwe.
Teddy Akumu atemera mugyobukulu 28 nga musomesa kussomero lya Noble Hill P/S elisangibwa e Namagabio mu Kayunga Town Council yaakedde okugenda kussomero lino nga ayagala Burser Waalyo Paul Mwaka era nga ono musumba wabalokole,amusasula sente ezemyeezi essatu z’abanja essomero.
kyokka Burser nakamuttema nti teziliiwo ekintu ekiggye omusomesa ono mumbeera nakwaqta omusimba amataayi nga bwawera nga
bwateekwa okusasulwa.
Wabula omusumba naye mukwelwanako akutte Akumu namukuba empi ssaaka nensambagere okukakana nga nengoye za Akumu ziyuziddwa nezifuuka buwero era nga abatuuze nabasomesa abalala bebataasiza akavuvugano kano,era gyebigweledde nga omusomesa addukidde ku police nagulawo omusanga ggwakumukuba,ate ye Burser n’asaako kakokola tondeka nnyuma
nga kati police emuyiga abitebye.