Bya Ivan Ssenabulya
Minista webyenjigiriza nemizannyo Janet K. Museveni wakutongoza kawefube omugya okulwanyisa akawuka ka muknenya gwebatuumye HIV/AIDS Free to Shine Campaign.
Kawefube ono wakutongozebwa olunnaku olwenkya, ngera wakuggulawo olukungaana olwekweuuza ku bakwatibwako ensonga, ku ntekateeka eyabamaama okulabrira abaana baabwe, obulungi okubewaza akawuka ka mukenenya.
Okusinziira ku mwogezi wa ministry yebyobulamu Emmanuel Ainebyona, kawefube ono alubiridde, okukomya emiwendo gyabaana abazalibwa nakakwuka ka mukenenya.
Omukolo guno gugenda kubeera ku Imperial Royale wano mu Kampala.