Bya Benjamin Jumbe
Bann-Uganda bonna basabiddwa okuvaayo okuddukirira abantu mu distict ye Bududa abakoseddwa okubumbulukuka kwe ttaka.
Omulanga gukubiddwa omubaka we ssaza lye Obongi Kaps Hassan Fungaroo ngabatuuze be Bukalasi bakyagenda mu maaso nokubonabona, oluvanyuma lwenjega omwafiira abantu 40 atenga anabalala abawerako tebanalabwako.
Bwabadde ayogerako naffe, omubaka Fungaroo agambye nti kimalamu amanyi okulaba nti abantu bakyafa mu mbeera eno, yeemu.
Wabula agamba nti abantu babulijjo tebatekeddwa kutunuliira gavumenti yokka, nti yevunanyizibwa, wabula buli omu asana okuvaayo okuddukirira.
Yyo gaavumenti mu gandaalo, erya sabiiti yatusizza obuyambi, bwe mmere okujira ngekwatirirakoku bantu bano.
Mu biralala byabwereddwa kwabaddeko weema, omwokusula, blankets, ebidomola, essepiki, amasowaani, amabaafu, obutimba bwensiri nebiralal.
Ne President Museveni olunnaku olwe ggulo yatuseeko mu gombolola ye Bukalasi era neyetonda olwokulemererwa okusengula abantu okubajja mu kifo kino.
Eno yasubizza okuwa obukadde 5 eri buli amaka gabafiriddwa nabakoseddwa obukadde 2.