
Poliisi ye Mpondwe kumpi n’ensalo eyawula eggwanga lya Uganda ne Congo eriko abateberezebwa okubeera abayeekera ba ADF bekutte nga babadde bagezako okusala nga badda mu Congo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bano bebamu ku bemulugunya lwaki munna FDC teyawangudde kalulu k’obwapulezidenti.
Enanga agamba bano baawandikibwa Yasin Nsubuga omutuuze we Nateete nga y’abadde ayagala kubayunga ku bayeekera beneyini e Congo.
Abakwatiddwa kuliko Adesa musa,Ntale Ibrahim ,Abdul wapakhabulo ,Adam Kayondo and Nsubuga Yasin.