Bya Samuel Ssebuliba.
Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi akunze abavuubuka mu matendegero agawagulu mu gwanga lya Kenya okutandika okufaayo ku nsonga za East Africa zonna.
Bwabadde awayaamu n’abayizi ba Nairobi University leero, Kyagukanyi agambye omaanyi g’obumu yagalaba olunaku lweyakwatibwa amajje ga UPDF, okukakkana nga ne bannansi ba Kenya beegasse mu lutalo olw’okumuta era nekikolebwa.
Kati ono agamba nti ensonga eziruma Uganda zisobola okulanda neziruma ne Kenya, kale enkolagana eno egwana ebeera yabuli kaseera,kavuna wabaawo ekinyigiriza abantu mu Mawanga gano gannamukago.