Bya Ndaye Moses.
Olunaku olwaleero Omubejja Joan Nasolo aweredwa ekifo ky’okubeera omuyima w’ekibiina ekirwanirira obutonde bwensi, kko n’ebisolo eby’omunsiko obutasaanawo nga kino kye Jane Goodall roots and shoots.
Tutegeezeddwa nti omumbejja Nasolo agenda kuba akulemberamu omulimo gw’okulwanirira obutonde bwensi nga ayiita mukusomessa abaana ku butonde bwensi munsi yonna.
Bwabadde akwasibwa obuvunayizibwa buno Ow’ekitiibwa Ritah Namyalo Kisutu , nga ono ye minister omubeezi akola ku by’obulambuzi mu government ye Mengo agambye nti kino kigenda okuyamba okutumbula eby’obulambuzi mu bwakabaka bwa Buganda kko ne Uganda yonna