Skip to content Skip to footer

Emotoka ezaatabuza Paapa mu 2015 zaabula.

Bya Moses Kyeyune.

Akakiiko ka parliament akalondoola ensasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo katabukidde abakungu okuva mu office ya president nga kaagala banyonyole gyebaateka emotooka biri ezaatambuza Papa mu mwaka 2015 bweyali akyadeko mu gwanga.

Bano nga bakulembedwamu  omuwandiisi wa office ya ssabaminister Willis Bashasha balabiseeko mu kakiiko kano babade bazze kunyonyola ku byali mu alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya government.

Alipoota eraga nti emotoka zino okuli eya Kia yagula obukadde 133, songa yo eya Mitsubishi L200 yagula obukadde 188.

Ababaka bano nga bakulembedwamu owe Ntungamo Municipality Gerald Karuhanga, batadde abakulu bano ku ninga nga baagala okumanya ani yagala emotoka zino.

Wabula Bashasha agambye nti situgaanye eyabala ebitabo bya government mu kadde ako emotoka teyaziraba, naye zaali zisimbiddwaku ministry ekola ku by’entambula era nga weeziri nakaakano.

 

Leave a comment

0.0/5