Bya Damali Mukhaye.
Abadde Nankulu wa kampala Jenifer musisi, era nga yeyawandiikidde President ebaluwa nga amutegeeza nga bwagenda okulekulira ekifo kino ayogedeko ne bananamawulire nagamba nti okulekulira kyabulijjo, era nga kikolebwa abantu abalimu ensa.
Ono agambye nti omuntu yenna bwabaako byakoze , nalaba nga takyasobola kusukka waaba atuuse ,kyamakulu n’alekulira era nga tekigwana kuwaawaaza bantu matu.
Ono agambye nti mu banga ely’emyaka omusanvu gyamaze mu KCCA agisitudde n’agiteeka ku musingi omugumu dala, kale nga okugendakwe tekitegeeza nti KCCA egenda kugwa.