Bya Prossy Kisakye,
Abakyala abatakabanira okulonda okutalimu mbeera ya buvuyo okuyita mu kibiina ki Women’s Situation Room (WSR),leero batadewo ebifo bina mu bitundu bye ggwanga ebyenjwulo we bagenda okwasaganyiza okwemulugunya nobuvuyo singa binaba bibaluseewo mu nnaku zokulonda
Ebifo bino bitereddwa mu disitulikiti okuli Mbarara okukola ku bali mu bugwanjuba bweggwanga, Soroti, ya bali mu buvanjuba, Kampala abali mu masekati ne Gulu abali mu mambuka
Mu kutongoza ebifo bino mu Kampala, Judy Kamanyi, okuva mu kibiina kino, aanyonyodde nti ebifo bino byonna biteredwamu amasimu agagenda okukola essaawa 24 nga bannauganda baloopa obuvuyo mu kulonda obuli mu bitundu byabwe okuyita mu masimu
Okwemulugunya kwonna kujja kuweebwa abakyala okuva mu kibiina kino songa mu bifo bino era mwakubamu abakungu okuva mu kakiiko ake byokulonda, abakuuma ddembe ne bannamawulire nga bano bakwanukula okusinzira ku kwemulugunya kwa bantu
Aba Women’s Situation Room bakola ne mu kulonda kwa 2016 era bafuna emisango egyekuusa ku butabanguko egisoba mu 1000 ne bagigonjoola bulungi nga teginavamu kabaate