Skip to content Skip to footer

Ababaka ba palamenti bakyalidde munaabwe Zaake.

Bya Nalweyiso Barbra.

Ababaka mu parliament nga bakulembedwamu omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Sentamu akawungezi akayise bakyalideko mubaka munabwe owa Mityana municipality Francis Zaake Butebi okulaba embeera kwosa n’okumusasira ebyo ebyamutusibwako.

Robert Kyaganyi ono nga amanyidwa ennyo nga Bobi wine asabye banamityana okubeera obumu nga y’engeri gyebayinza okulwanyisamu obukulembeze bwayise obwamusibira.

Bobi wine asabye abavubuka bona mugwanga okwewandiisa singa ekiseera ekyokulonda omukulembeze wegwanga kiba kituuse.

Leave a comment

0.0/5