Skip to content Skip to footer

Abaana abaafira mu muliro gwe Rakai baziikiddwa.

Bya Ritah Kemigisa.

Leero bibadde  biwobe nga emirambo gyabaana abaafira mu muliro ogwayokya esomero wano st Bernard wano e  Rakai gitwalibwa okuzikibwa-oluvanyuma lwokwekebejjebwa wano e Mulago.

Alipoota ekoleddwa ku bagenzi eraze nga abaana bano bwebaafa ekiziyiro, olw’omukka omungi  ogwali guvva mu mifaliso n’ebintu ebirara.

Bwabadde afulumya alipoota eno wano e mulago,omusawo wa government Moses Byaruhanga agambye nti endaga butonde zebajja ku mirambo zakwataganye bulungi n’abazadde banana bano, kale nekyanguya okumanya abantu baabwe.

Oluvanyuma emirambo agikwasiddwa minisita  omubeezi akola ku by’enjgiriza omukyala Rosemary Sseninde ye nagikwasa abazadde babaana bano negitwalibwa ku somero e Rakai.

Bano nga batuusiddwa ku somero lya St Bernard gyabaali basomera wabaddewo ekitambiro kya misa nga kino kikulembeddwa Vicar General w’essaza lye Masaka Musonyori Serverus Jjumba .

Leave a comment

0.0/5