Eyesimbyewo ku tikiti ya FDC Dr Kiiza Besigye asabye abalonzi okubeera obumu bwebaba bakutukiriza ekilubirirwa kyabwe ekyenkyukakyuka mu ggwanga.

Nga ayogerako n’abawagizi be e Kibuli ku dipo y’essundiro ly’amafuta eya Total, Besigye ategezezza nga ab’oludda oluvuganya gavumenti bwebasanye okwegatta okuleetawo enkyukakyuka esaanidde.
Bessigye asabye abalonzi obutagwamu maanyi wabula bakuume akalulu kaabwe okwewala obubbi.
Besigye awerekeddwako loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago, akwatidde ekibiina kya FDC bendera okukiikirira Makindye East Ibrahim Kasozi,bakansala w’amu n’abakungu b’ekibiina abalala.
Besigye asuubirwa okuyimirirako mu bifo ebyenjawulo era akube enkungaana e Gaba, Katwe, Busega n’ewalala.