Ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu ggwanga wamu n’ekitongole ekinonyereza ku misango okuva mu ggwanga lya Bungereza bakwongera okwetegereza emmotoka ezileetebwa wano mu Uganda.

Kino kiddiridde ekikwekweto ekyakolebwa omwaka oguwedde emmotoka 24 nezizuulibwa nti zabibwa nezitikibwa okuleetebwa wano mu Uganda.
Omu ku bavunanayizibwa ku byamaguzi ebiyingira mu ggwanga Dickson Kateshubwa agamba bataddeyo tekinologiya ow’omulembe kati akebere buli kiri mu konteyina eziyingira Uganda okuva ku myalo.
Agamba singa tewabaawo kikolebwa amawanga amalala gandisangula Uganda mu mawanga gegakolagana nago mu by’obusuubuzi.