Skip to content Skip to footer

Enju egiteekedde omuliro

fire guts house

Omusajja asowaganye ne mukyala we amuggalidde mu nyumba ne muwala we n’oluvanyuma n’agikumako omuliro

Christine Nalwoga ne Dorothy Nabweteme abe Luweero beebasumattuse omuliro guno kyokka nga bali mu mbeera mbi.

Omukyala ono Nalwoga agamba nti bba yakomyeewo ewaka nga bulijjo n’amuwa ekyeggulo era nebeebaka

Kyamuweddeko okuzuukuka ng’enju eteta  ate nga bba tamulabako

Omu ku b’oluganda lwa Nalwoga agamba nti ababiri bano baludde nga bayombayomba olw’ensonga z’obugagga n’ensimbi mu maka ng’omusajja agamba nti omukyala abadde aliko ky’ategeka ate nga tamumanyisa

Leave a comment

0.0/5