Skip to content Skip to footer

Teri yatugambye ku kibba kalulu- Kakiiko akalondesa

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Akakiiko akalondesa tenabba kufunako kwemulugunya kwonna okukwata ku kibba bululu.

Abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bavuddeyo nebategeeza nti bagudde mu lukwe lw’okubba akalulu nga ku bano kwekuli Dr Kiiza Besigye, Amama Mbabazi ne pulezidenti Museveni

Wabula akulira akakiiko akalondesa Eng Badru kiggundu agamba nti bino bipya byogerwa bulijjo.

Asabye abalina okutya okwemulugunya mu butongole , abalina enteekateeka ezibba bakwatibwe ng’akalulu tekannaba kutuuka.

Leave a comment

0.0/5