Skip to content Skip to footer

Eyaba ensimbi ku mobile money akwatiddwa.

Bya Ruth Anderah.

Omukazi ow’emyaka makumi 22 avunaniddwa naasindikibwa mu komera e Luzira ku misango gy’okubba sente okuva ku mobile money.

Nasali Shadia nga mukozi ku mobile money asomeddwa emisango gy’obubbi mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Patrick Talisuna wabula emisango nagyegaana.

Kigambibwa  nti omukyala ono mu mwezi gwa April ne November 2018 e Kiwatule Nakawa division wano mu Kampala yabba akakadde k’ensimbi za Uganda kamu mw’emitwalo makumi abiri okuva ku mobile money  nga zaali za mukama we Amuge Ruth.

Nasali asindikiddwa mu kkomera ly’abakyala e Luzira okutuusa December 20th lwagenda okudizibwa atandike okuwerenemba n’emisango gy’obubbi.

 

Leave a comment

0.0/5