Bya Barbra Nalweyiso.
Okunonyereza mu district ey’eMityana kulaze nga okutulunya abaana abato bwekweyongedde mu district eno nga entabwe eva ku butabanguko mu maka.
Twogedeko n’akwagasanya ensonga z’abaana mu district eno ey’eMityana Rosemary Nazimbe naategezeza nga alipoota ekoledwa bweraga nga emisango 60 egy’okutulugunya abaana bwegyaloopebwa ku poliisi mubanga ely’emyezi esatu nga okutulugunyizibwa kuno kukolebwa okusinga kubaana abali wakati we myaka 1- 5.
Ono agamba nti abaana bangi abatulugunyizibwa abasirika, kale nga abatuzue ensonga eno bagwana kugyetabamu