Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kya UNICEF kitenderezza gavumenti ya Sweden olobumalirivu bwayo okulongoosa ebyobujanjabi mu Uganda.
Ekitongole kya Swedish International Development Agency okuyita mu nsawo yaakyo, kyeyamye okuteeka ensimbi mu byobulamu eri abaana mu bitundu bya West Nile.
Omubaka wa Sweden kuno Per Lindgärde, ategezeza nti bagenda kwongera amanyi mu byobujanjabi eri abaana abakazalibwa, abavubuka, neba nakabutuzi.
Okusinga agamba nti bakuteeka ebikozesebwa mu malwaliro, okutuusa amzzi amayonjo eri abantu nokuwa amalwaior obusobizo okukolanga ku ddwade ezenjawulo.
Kati omubaka wa UNICEF mu Uganda, Dr. Doreen Mulenga ategezeza nge bwebagenda okuteeka essira ku district okuli Adjumani, Arua, Koboko, Maracha, Moyo, Nebbi, Packwach, Yumbe ne Zombo.