Mubende
Bya Magembe Ssabiiti
Police mu gombolola ye Nabingoola e Mubende ekute Lugemwa Jowalu owemyaka 45 ngono muwalimu muzikiti gwe Kiyita e Nabingoola lwakukakana ku baana be 2 okuli owemyaka 7 ne 13 nabakaka akaboozi akekikulu.
Ssentebe w’omuluka gwe Kiyita, Peter Nzikire ategezeezza nga muwalimu Lugemwa Jowalu bwaludde ngakozesa abaana bano babadde abeera nabo.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango e Mubende Swaliki Dauda akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono nga kati agudwako omusango gw’okusobya ku baana abatanetuuka ate beyezalira.