Omukulembeze we gwanga era ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero asuubirwa okugendako mu district ye Iganda nga eno agendayo kukuyegera munna NRM Brenda Asinde akutte bendera y’ekibiina mu kulonda kw’omubaaka omukyaala owa district eno okugenda okudiwamu ku lwokuna luno.
Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lw’okufa kw’omukyala Hailat Kaudha eyali omubaka omukyala ow’ekitundu kino, nga ono yafa mu mwezi gwakutaano.
Twogedeko nemunamawulire wa pulezidenti Don Wanyama n’agamba nti pulezidentt awaliriziddwa okuyimiriza mukaweefube gw’aliko ow’okumatiza abantu ku nongosereza z’ebyetaka n’asalawo okugendako e Iganga.
Abamu kubalala abali mukalulu kano kuliko Nakato Mariam , Naigaga Mariam, Aziza Kakerewe ne Olivia Kwagala Mawanda.
