Bya PATRICK EBONG.
Mu district ye Otuke police etandise nate okuyigga omusomesa owa pulayimale agambibwa okusobya kumuwalawe omujja n’anyina ,teyakoma okwo n’amusiiga ne mukenenya.
Kaggwa ensonyi ono ye Richard Odoch owe myaka 46 nga omutuuze mu gombolola ye Ogor.
Ono yakwatibwa ku lunaku lw’akutaano, kyoka yasala ag’enkolwa naduka mukaduukulu nakati police emuyigga.
Twogedeko n’aduumira police ye Otuke Robert Kuzaara nagamba nti kituufu omusajja ono yatolose, wabula nga bamuyigga.