Ab’ekibiina kya FDC bawakanyizza ebigambibwa nti omuntu waabwe Dr Kiiza Besigye yasegulidde Amama Mbabazi owa Goforward okukwata bendera y’abavuganya wansi w’ekisinde kya TDA
Amawulire gaalaze nga Besigye bweyabadde akkirizza okulekera Mbabazi ku lw’obulungi bwa buli omu n’okulaba nti abavuganya bafuna obuwanguzi.
Kati akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agambye nti enteseganya zikyagenda mu maaso era ekyekomeredde tekinnaba kutuukibwaako.
Muntu era awakanyizza ebigambibwa nti abagabirizi b’obuyambi babatadde ku ninga okusimbawo omuntu omu nga y’ensonga lwaki bakubirira.
Muntu asabye abawagizi ba Mbabazi ne Besigye okwewala okuwanyisiganya ebisongovu okutuuka n’okwerabira omulabe.