Skip to content Skip to footer

Kikungwe ayagala bwa loodimeeya

Olwokaano lwa loodimeeya lweyongeddemu ebbugumu.

Kati Omubaka we Kyaddondo mu bukiikaddyo Isa Kikungwe yegasse ku besimbyeewo

Ng’ayogerako eri bannamawulire ku woofiisi ye e Nalukolongo, Kikungwe agambye nti tasobola kutuula mabega ng’ekibiina kye tekisimbyeewo Muntu nga y’ensonga lwaki avuddeyo.

Kikungwe agambye nti oluvanyuma lwa loodimeeya Erias Lukwago obutakima kaadi ya DP, tewali nsonga lwaki teyesimbawo ku kifo kino

Akinogaanyizza nti azze kukola wabula ssi kulwana.

Leave a comment

0.0/5