Akakiiko akakola ku byempiliziganya kalagidde kkampuni z’amasimu okujjako amasimu gonna agatali mawandiise mu nnaku 30
Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kkampuni za amasimu bagawadde obudde obumala okwetereeza nga eby’emirembe kati biweddeko.
Mutabaazi bw’abadde ayogerako eri bannamauwlire agambye nti mu nnaku 30 okuva kati, bakutabukira kkampuni eziremezzaako amasimu agatali mawandiise.
Ono bw’atuuse ku bya TV za digito, mutabaazi agambye nti bbo baamala ogwaabwe okw’okussa emirongooto mu ggwanga lyonna nga gyebujja teri TV kazibe ez’omu kyaalo ezinalekebwa ku mpewo.