Bya Shamim Nateebwa
Kyadaaki entekateeka z’okutereka enjole y’omumbejja Beatrice Juliana Muggale abade Senga wa Kabaka zifulumiziddwa.
Okusinzira kuntekateeka ,leero omubiri gw’omugenzi gwakugibwa mu gwanika ate ku ssaawa mwenda okusaba kutegekebwe mu Full gospel church Makerere.
Ku lw’okubiri ku ssaawa nnya okusaba kwakutegekebwa mu lutikko Namitembe ate ku ssaawa kkumi enjole eterekebwe mumasiro e Kasubi.
Omumbejja Mugale yaserera ku myaka 90, ng’abadde abeera e Mengo ku Nfudu.