Skip to content Skip to footer

Kooti Egaanye Okuzukula Entaana yo’mugenzi Ivan Ssemwanga

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala egaanye okuyisa ekiragiro, okukaka aba A-Plus Funeral Management Company okujjayo omulambo gwomugenzi Ivan Ssemwanga.

Omutuuze Abey Mgugu, yali yadukira mu kooti ngayagala ekiragiro, entaana ezikulweyo okujjayo ensimbi zebamuziika nazo, era kirangirirwe nti kyali kimenya mateeka Bank ya Uganda enkulu okumala galeka ebikolwa ebyaliwo mu kuziika omugnezi Ssemwanga nebamusulayo ne ssente kubanga kikosa ebyenfuna bye gwanga.

Omulamuzi Margaret Oguli- Oumo, kitegezeddwa nti yagobye omusango guno.

Omulamuzi Oguli agamba nti A-Plus Funeral Management ku byonna Mgugu, byesaba tevunayizibwa kubanga yyo yali ekola mulimu gwayo okuziika, songa era ssi bebalagira abavubuka okuzikayo ensimbi ezaali mu dollar nemu ssiringi.

Wabula mungeri yeemu Bank enkulu ekyalina omusango omulala mu maaso gomulamuzi Stephen Musota, omuuuze Robert Ssenfuka naye bweyawaaba ku nsonga yeemu.

Omugenzi Ivan Ssemwanga, eyali omusubuzi, omutumufu munn-Uganda wabulanga akolera mu gwanga lya South Africa yafiira mu kibuga Pretoria, nazikibwa ku kyalo Nakaliro mu district ye Kayunga nga 30 May omwaka guno 2017.

Leave a comment

0.0/5