Skip to content Skip to footer

Kayihura alindiriddwa mu kooti

Bya Benjamin Jumbe

Eyali omuddumizi wa poliisi mu gwanga Gen Kale Kayihura atusiddwa mu kooti yamagye e Makindye.

Bbo abantu abajjwulo beyiye ku kooti eno, okulaba misango ki ejigenda okuvunanwa munamagye ono.

Mukyala wa Kayihura Angella Kayihura nabavubuka okuva e Kisoro balabiddwako nga benanise ku T-Saati obuddugavu, okuwnadikiddwa ebigambo nti tuli naawe, era twagala bwenkanya eri omuntu waffe.

Kayihura yakwatibwa okuva mu maka ge e Lyantonde mu June womwaka guno, ngokuva olwo abadde agaliddwa ku nkambi yamagye e Makindye.

Abantu bangi okuli nabalwanirizi be ddembe lyobuntu bazze bavumrirra ekyokumuggalira okusukka essaawa 48 awatali kumutwala mu kooti okuvunanwa.

Kayihura yagobwa mu kiffo kye nga Ssabapolisi we gwanga, nabamusikiza Martin Okoth Ochola.

Leave a comment

0.0/5