Bya Sadat Mbogo
Police mu district y’e Gomba eriko omuntu gwekubye amasasi n’afirawo nga kizzeewo police bwebadde egobagana n’ekibinja kya bodaboda ababadde beekalakaasa mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Bino byonna bibadde ku kyalo Bukalagi ngomwogezi wa police mu bitundu bya Katonga Joseph Musana akakasizza bino natubuulira nti abeekalakaasi babadde bazibye enguudo mu kitundu n’okukumamu nga bawakanya okusibwa kwomubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi.
Musana atugambye nti attiddwa amaze kulabibwa ngalumbye omu ku baserikale n’ejjambiya amutte, police kwekumukuba amasasi agamugye mu budde.
Abatuuze abasinga badduse ku kyalo beekukumye, nga kati abaserikale bateevunya nga munyeera.