
Omukago gw’ebibiina by’abakyala mu ggwanga gukwasizza eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Rtd. Maj. General Benon Biraaro omusubbaawa gw’emirembe.
Omusubbaawa guno kabonero eri abeesimbyeewo nti bakukola kyonna ekisoboka okulaba nti okulonda kuba kwa mirembe
Akulira omukago gw’abakyala guno Rita Aciro asabye Biraaro okubeera omumuli gw’emirembe buli gy’alaga okuwenja akalulu.
Aciro agamba nti abesimbyeewo bonna omunaana bakufuna omusubbaawa guno nga bazooka kugukwasa Dr Kiiza Besigye owa FDC.