Omukazi owe myaka 76 agambibwa okutta muzukulu we asaliddwa ekibonerezo kya myaka 18 mu kkomera.
Ono nno abadde yakamala ku alimanda emyaka 3 nga kati wakwebakayo emyaka 15
YYe muzukkulu we bwebazza emisango Hussein Lukenga asaliddwa ekibonerezo kya myaka 35 mu kkomera nga naye kati wakwebakayo emyaka 32.
Namukadde ono Hanifah Namuyanja yekobaana ne muzukkulu we omulala ayitibwa Hussein Lukenga okutta mwanyina Shamim Nalwoga.
Kigambibwa nti omusango bagguza mu December wa 2012 mu Kibalama zone Lukuli mu division ye Makindye era nga okuva omwaka ogwo bali ku alimanda Luzira.
Era kigambibwa nti omugenzi nga tanattibwa, basooka musiiga takka n’amafuta getaala nebalyoka bamusalasala omubiri gwona.
Omulamuzi Joseph Mulangira agambye nti abakebejja omulambo gw’omugenzi tbagusangamu, lulimi, bitundu bya kyama n’ebyenda ng’ono okumutta bazooka kumutulugunya.