
Amaggye g’eggwanga gakussa ekitiibwa mu bantu kyebanaasalawo mu kalulu akagenda okusuulibwa omwezi ogujja.
Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala y’akakasizza eggwanga bw’ati.
Kino kizze nga Gen Kale Kaihura yakamala okutegeeza nga poliisi bw’etaggya kukkiriza kukwasa bavuganya buyinza wakiri okujjayo emmundu okutaasa eggwanga.
NG’ayogerera ku mukolo gy’okuggulawo wiiki y’amaggye, Gen Katumba Wamala agambye nti ng’amaggye bassa ekitiibwa mu ssemateeka na ki ky’eyogera ku kukyuusa obuyinza.
Ono kyokka era alabudde abagaala okukola emivuyo nti tebaggya kubakkiriza.