Bya Ruth Anderah
Omuyima wa boda boda 2010 Abdullah Kitatta wakusigala mu kkomera ku alimanda oluvanyuma lwe kooti yamagye, okwongezaayo omusango gwe ogwokusaba okweyimirrwa, awatabadde kulaga ddi.
Olwaleero kooti eno etulako abalamuzi 7 olwaleero ebadde etekeddwa okutuula okuwlira okusaba kwa Kitatta okwokweyimirra wabulanga tetudde, atenga tebawadde nsonga.
Wabula amawulire agomunda, okuva mu kooti eno, galaze nti abakulu bandiba nga baabitaddemu engatto okugenda mu gwanga lya Somalia ku mirimu emitongole.
Guno mulundi gwa kubiri ngomusango gwa Kitatta ogwokusaba okweyimirrwa gwongezebwaayo.
Kitatta abadde mu kkomera okuva nga February 29th ku misango gyokusangibwa nebyokulwanyisa mu bumenyi bwamateeka.