Skip to content Skip to footer

Bobi Wine ajjukizza presidenti Museveni

Bya Ritah Kemigisa

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ajjukizza Museveni okunywerera ku bigambo bye, abeera mwoyo gwa gwanga ate era omukulembeze owekyokulabirako.

Bwabadde ayogera ne banamawulire mu maka ge e Magere, omubaka Kyagulanyi agambye nti Presidenti Museveni emirundi mingi avudde kubyamutwala mu nsiko, kati akola biralala.

Agamba nti abavubuka bali mu kutya, olwobukambwe gavumenti ye eyajja nga yamirembe ne ssuubi eppya eri abantu, ate bwekozesa.

Olumaze nagamba nti byonna ebibaddewo bivuddemu, ebirungi okubadde okwanika obuziina bwa gavumenti.

Wabula gavumenti ezze ewakanya ebyogerwa nti omubaka Kyagulanyi yatulugunyizbwa.

 

Leave a comment

0.0/5