Skip to content Skip to footer

Abantu obukadde 3 bebaafa omwenge

Bya Sam Ssebuliba

Alipoota gyebatuumye Global status report on alcohol and health 2018 eyafulumiziddwa ekitongole kyebyobulamu, the World Health Organization eraze nti abantu obukadde 3 bebafa olwokwekamirira omwenge mu mwaka gwa 2016, nga kitegeeza nti omuntu 1 ku bantu 20 yeyafa.

Okusinziira ku Dr Tedros Adhanom kulira ekitongle kya WHO, abantu 1/3 ku bano abaafa baali basajja, nga nokunywa omwenge kulina engeri gyekwakosaamu namaka gaabwe.

Kati era ebibalo biraga nti 28% baafa olwobisago byebafunanga oluvanyuma lwokunywa omwenge, okuli obubenje ku nguudo, kwrumya bbo bennyini, okulwanagana nebiralala.

Ate 21% bafa lwabuvune mu byendya nga nabalala 19baafuna ebirwadde ebiva ku mwenge.

Leave a comment

0.0/5