Bya Ivan Ssenabulya ne Ndaye Moses
Abakulembeze mu district ye Buikwe basabye, gavumenti okuvaayo ne tteeka okukanga abantu okukozesanga ekitundu ku ttaka lyabwe okusimba emiti.
Ssentebbe wa district Matthias Kigongo agamba nti kino, kyakuyamba gavumenti mu kawefube, owokukuuma obutonde bwensi.
Agamba nti etteeka nga lino, lyetagisa ate nokutekamu amanyi okulissa mu nkola.
Ate police ye Buikwe erabuidde ba ssentebbe be byalo, bakomye okweyingizanga mu mirmu gya poliisi.
Atwala poliisi eno Gaston Twinamatsiko agamba nti abamu kuba ssentebbe be byalo, bakira emisango egirina okugenda ku poliisi nebajitulamu okujiwozesa atenga tebatekeddwa.
Twinamastiko okwogera bino, abadde asisinkanye ba ssentebbe be byalo abakalondebwa.